Amawulire

Okulonda sipiika kwa leero

Okulonda sipiika kwa leero

Ivan Ssenabulya

May 24th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Damalie Mukhaye

Ababaka 529, mu palamenti empya eyomulundi ogwe 11 olwaleero bagenda kutuula mu lutuula lwabwe olusookera ddala.

Bano bagenda kutuula ku kidsaawe ky’emikolo e Kololo, okulonda sipiika nomumyuka we, wabula wakati mu kugoberera amateeka nebiragiro bya ssenyiga omukambwe COVID-19.

Abavuganya ku kifo kya sipiika kuliko owa NRM Jacob Oulanya ekibiina gwekywanzeeko eddusu, ne Rebecca Kadaga owa NRM wabula ekibiina gwekitawagidde.

Abalala kuliko owa FDC Ibrahim Ssemuju, owa DP Eng Richard Ssebamala nga ye mubaka wa Bukoto Central nomubaka omulyala owa disitulikiti ye Rakai Juliet Kinyamatama.

Kinyamatama naye wa NRM wabula okufananako nga Kadaga, aganeda kuvuganya kubwanamunigina.

Ku kifo kyamyuka sipiika abavaayo okuvuganya kuliko, Thomas Tayeebwa, Jacob Oboth Oboth, Robinah Rwakoojo, Robinah Nabbanja nga bonna ba NRM, Yusuf Nsibambi owa FDC, nabalala.

Kati ku kifo kya sipiika, abadde sipiika mu palamenti eyomulundi ogwe 10 Rebecca Kadaga alangiridde nti agenda kuvuganya nga namunigina.

Kino kyadiridde olukiiko lwa CEC, okumusuula nebasalawo okuwagira Oulanya.

Mungeri yeemu, akawungeezi akayise, akabondo kekibiina kya NRM, kawanze eddusu ku mubaka omukyala owa disitulikiti ye Bukedea, Anita Among, gwebagenda okuwgaira ku kifo kyamyuka sipiika.

Olukiiko lwekibiina olwa waggulu, olwa CEC lwawerezza amannya 3 okubadde Thomas Tayebwa, omubaka wa Ruhinda North, Rbinah Rwakoojo owa Gomba West ne Anita Amongi, eri akakbondo kekibiina okulondako.

Wabula Amongi awangudde Tayebwa nobululu 168 ku 149.

Kati akulira ebyokulonda munda mu NRM Dr. Tanga Odoi, alangiridde Amongi, ngti ekibiina gwekisazeewo okuwagira.

Yye Robina Rwakoojo, afunye obululu 10.

Ssabalamuzi we’gwanga Alfonso Owinyi Odollo agenda kukulemberamu omukolo gwokulayiza sipiika omugya nomumyuka we, aba palamenti eyomulundi ogwe 11.

Okusinziira ku nyingo eye 82 mu ssemateeka wa Uganda, Ssabalamuzi yatekeddwa okukulemberamu omukolo gwokulayiza abakulembeze bano nga bakalondebwa.

Omu ku bakulira ebyamawulire ku palamenti Charles Bukuwa Ssabalamuzi era yagenda okukulemberamu nokulonda.

Okulonda kuno kwakyama.

Bbo abatunulizi bensonga zebyobufuzi, balagudde nti okusalawo kwa Rebecca Kadaga, okuvuganya nga namunigina kugenda kutondawo obunkenke mu kulonda kwa sipiika, ate kwabuluzeemu nekibiina.

Prof. Ndebeesa Mwambutsya, omusomesa we Makerere yayaogedde bino ngalabdde nti okulonda wekunagwera ngekibiina kyetemyemu.

Mu biralala byanokoddeyo kwekwetema engalike, okwetobese mu kibiina.

Agambye nti abantu abamu bajja kwebuuza lwaki CEC yalamererewa okusunsula abantu abavuganya ku kifo kyomukulembeze we’gwanga wabula ate bwebatuuka ku bifo nga bino nebatekamu amaanyi okubasaunsula.

Mungeri yeemu, ababaka abapya basabiddwa okuteeka essira ku nsonga eziruma abantu.

Siraje Nsanja, nga naye mulondoozi wabyabufuzi, agambye nti ensonga ezitaliimu nsa basaanye okuzewala.

Agambye nti basaanye okuwagira entekateeka za gavumenti, ezirubiridde okukyusa obulamu bwabantu.

Anokoddeyo ebyanfuna bye gwanga, okuba nti byadirirra okuva ku 7.5% mu 2019 okudda ku 3 % mu 2020 olwekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Ensonga nga zino agamba zezetaaga okuweebwa obudde.

Yye Crispy Kaheru, omulondoozi webyokulonda asabye Kadaga nti agoberere nokussa ekitiibwa mu kusalawo kwekibiina.

Kaheru agambye nti kino kijja kuyamba ekibiina obutetemamu kibiina

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *