Amawulire

Okulonda okwasigalira kwa leero

Okulonda okwasigalira kwa leero

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Akakiiko kebyokulonda olwaleero kategese okulonda kwa gavumenti ezebitundu, okwali kwasigalira mu bifo ebiri mu makumi 50 okwetoloola egwanga.

Okusinziira ku mwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya, ebimu ku bitundu bino, obukonge bwobululu bwajja ngamannya tegakwatagana nebifanyi, atenga awalala okulonda kwalimu okulwanagana era nebakuyimiriza.

Abamu ku balonda olwaleero, e Kyankwanzi ne Madi-Okollo nga balonda ba ssentebbe bazi disitulikiti.

Awalala okulonda kwaba ssentebbe bamagombolola mu gombolola ye Nabingoola, ssentebbe wa Mateete tawuni kanso, Mawogola, Ngandho, nawalala.

Abantu basabiddwa okujumbira okulonda kuno, ate bakuume emirembe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *