Amawulire

Okulonda mu kampala, balwanye, e Makindye tebalonze

Okulonda mu kampala, balwanye, e Makindye tebalonze

Ali Mivule

October 27th, 2015

No comments

File Photo: Abawagizi ba NRM

File Photo: Abawagizi ba NRM

Okulonda kw’akamyufu k’ekibiina kya NRM kufundikiddwa mu bitundu ebisinga ng’okubala obululu kutandise

Akalulu kano mpozzi keekamu kw’obwo obufumbekedde okulwanagana nga n’awamu okuyiwa omusaayi kulabiseeko.

Mu kampala, embeera etandise ya kimpowooze kyokka ng’ebintu bimaze nebitabuka

E Lubaga enguumi enyoose abawagizi ba Katongole Singh bwebalumbaganya aba Abdul Kitatta gwebalumiriza okutabula okulonda

 

Wabula yye Sentebe wa NRM e Rubaga Abdul Kitta bino byona abiwakanyizza.

E Makindye mu bugwanjuba eno tebalonze.

Akulira eby’okulonda Hadijah Galabuzi agambye nti ebikozesebwa mu kulonda bituuse kikereezi kwekusala bongezeeyo ensonga okutuuka olw’enkya

Kino kisinze kukosa besimbyewo ne ba kalondoozi baabwe mu bitundu ebitali bimu.

E Kawempe, abaayo bemulugunyizza ku balondesa ate abafuuse abalonzi nebatuuka n’okubbira abamu ku besimbyeewo.

Twogeddeko n’abalondedde mu kiwanyi mu Katanga nga bagamba nti akalulu kabaddi kalina okuyimirizibwa.

Okuva mu Kampala okudda mu bitundu ebirala, e Mubende waliwo abayizi abakwatiddwa nga balonda mu kamyufu ka NRM.

Abayizi bano aba Kiganda High school basangiddwa ku nkalala.

Mu ngeri yeemu, Poliisi eyitiddwa bukubirirre okukkakkanya embeera e Kasanda, abalonzi bwebayuzizza olukalala okuli abalonzi