Amawulire

Okulonda mu Arua tekujumbiddwa

Okulonda mu Arua tekujumbiddwa

Ivan Ssenabulya

August 15th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Okulonda kwomubaka wa munisipaali ye Arua kugendera ddala mu maaso, wakati mu byokwerinda ebinywezeddwa.

Eno tutegezeddwa nti abantu batono, bangi tebajjumbidde kulonda ku biffo ebironderwamu ebsinga obungi.

Abantu 12 bebali mu lwokaano, okuli owa NRM Nusura Tiperu, owa FDC Bruce Musema ne Kasiano Wadri Eyajidde kubwanamunigina nabalala.

Ekiffo kino kyasigala nga kikalu oluvanyuma lwokutibwa kweyali omubaka waakyo Col Ibrahim Abiriga eyatemulwa June owomwaka guno.

Owa NRM Nusura Tiperu nowa FDC Bruce Musema wetwogerera nga bamaze okulonda.

Kati bwabadde ayogerako ne baamwulire ngomuntu waabwe yakalonda, emisana ga leero presidenti wa FDC Patrick Amuriat Oboi aweze nti obuwanguzi bubali mu ttaano.

Yye Kasiano Wadri tamanyikiddwako mayitire bweyakwatibwa ku Bbalaza nababaka abalala Paul Mwiru, Gerald Karuganga, Robert Kyagulanyi ne Francis Zaake.