Amawulire

Okulonda kwa Sipiika kwolekedde okwabuluza NRM

Okulonda kwa Sipiika kwolekedde okwabuluza NRM

Ivan Ssenabulya

May 19th, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Abatunuliira ensonga zebyobufuzi, balabudde ekibiina kya NRM nti okuvuganya ku kifo kya sipiika wa palamenti eyomuylundi ogwe 11 nti kwandireka ekibiina nga kukyabuluzamu.

Okulabula kuno kukoleddwa, Siraje Nsanja, omukugu ku nsonga zebyobufuzi okuva ku ttendekero lya Kampala University, ngono agambye nti okulonda okwekyama kuyinza era obutatasa kibiina mu mbeera eno.

Ono agambye nti kyewunyisa lwaki enkola eno ate benyini bagaana okujikozesa mu kalaulu kakamyufu akawedde, songa kati balaga gyebetaaga ennyo.

Nsanja, wabula awabudde ekibiina okulonda ku babaka abapya, okukyusa ku babadde mu bifo ebyo.

Ssentebbe wakakiiko kekibiina kya NRM akebyokulonda Dr. Tanga Odoi yategezezza nti okutandika nolwaleero, bagenda kutandika okufuna amabaluwa gaabo abagala okuvuganya ku kifo kya sipiika noimumyuka we.

Bano amannya gaabwe bakugatwala mu lusirika lwekibiina nga 23 May, atenga okulonda okugenda kuberawo ku Bbalaza nga 24.