Amawulire

Okulonda kwa NRM kwongezeddwaayo

Okulonda kwa NRM kwongezeddwaayo

Ali Mivule

October 26th, 2015

No comments

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

Ab’ekibiina kya NRM balangiridde nga bwebongezzaayo okulonda kw’akamyufu okubadde okwaleero okutuusa olunaku olw’enkya.

Akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kekalangiridde kino awatali kunyonyolwa kwonna.

Ab’ekibiina bakulonda abanabakwatira bendera ku bubaka bwa palamenti ssaako nebassentebe b’ebyalo.

Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ka NRM  Dr.Tanga Odoi agamba akakiiko kazibye buli muwatwa omuntu mwayinza okubbira obululu nga era bakolagana n’ebitongole ebikuuma ddembe okukuuma wonna ewalonderwa.