Amawulire

Okulonda kubeewo mu Central African Republic

Ali Mivule

October 30th, 2015

No comments

Akulira eggwanga lya Central African Republic owekiseera ategeezezza ng’okulonda mu ggwanga lino bwekulina okukwatibwa ng’omwaka tegunnaba kuggwaako okwewala entalo.

Catherine Samba Panza agambye nti embeera mu ggwanga lino eyongera kubijja nga kino kivudde ku butalonda, amaloboozi g’abantu negatuulibwaako.

Eggwanga lya Central African Republic libaddemu okulwaana okuva ekibinja ky’abasiraamu kirya buyinza mu mwaka gwa 2013.