Amawulire

Okulamaga kwabajulizi kutuuse

Okulamaga kwabajulizi kutuuse

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Juliet Nalwooga

Obukulembeze bwekigo kye Namugongo ku kiggwa kyabajulizi bagamba nti ssenyiga omukambwe, yajiramu emikisa.

Bino webijidde, ngokulamaga kwomwaka guno kutuuse, wabula wakati mu kwetangira ssenyiga omukambweabantu bonna ssi bakukwetabamu.

Bwabadde ayogerko naffe, bwanamukulu weigo kino, Father Vincent Lubega agambye nti mu mbeera eno basobodde okuzibula amaaso nokuvumbula enkola endla zebayinza okuyitamu okubunyisa ekigambo kya Katonda.

Agambye nti obafunye nomukisa okuyumbula pobulambuzi mubye diini, obwomunda mu gwanga.

Mungeri yeemu, abakulembeze babsiraamu e Namugongo ku “Masjid Noor-Shuhada’e’ basabye omukulembeze we’gwanga atukirize obweyamu bweyakola mu 2019 okuzimba ekiggwa kyabwe ekyabajulizi, okukizza ku mutindo.

Kino bagamba nti kyakwongera okutumbula abalambuzi nabalala.

Abasiraamu olunnaku lwenkya nga 1 June bagenda kwetaba mu kusaba, okujjukira banaabwe 77 nabo abatibwa olwe’diini ku biragiro bya Kabaka mu 1875.

Uzairu Nuhaya imam womuzikiti guno, agambye nti balina ensonga znnyingi ezibanigiriza zebagala gavumenti ekoleko.

Agambye nti mu biseera nga bino, bakwongera okubanga eri gavumenti.