Amawulire

Okulamaga kwabajulizi abayisiraamu kwaleero

Okulamaga kwabajulizi abayisiraamu kwaleero

Ivan Ssenabulya

June 1st, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga ne Gretrude Mutyaba

Abayisiraamu olwaleero, bagenda kujaguza okujjukira abajulizi ba Uganda aabayisraamu abattibwa ku biragiro bya Ssekabaka Mwanga, mu mwaka gwa 1875.

Sheikh Sudi Nyombi imam womuzikiti gwe Namugongo Masjid Noor-Shuhada’e’ agambye nti bano baali mu 77, nga nabo bajemera ebiragiro bya Kabaka olwediini.

Bwabadde ayogerako naffe, ono agambye nti bategese dduwa eyokulamaga, yakutandika ssaawa 4 ezokumakya ngabantu abatasukka 100 bebagenda okukwetabamu.

Okwawukanako nabakusitaayo abakuza olunnaku luno nga 3 June, Sheikh Nyombi agambye nti bbo bakuza abajulizi nga 1 June, okujjukira olunnaku eyali omukulembeze we’gwanga omugenzi Idi Amin lweyatongoza obukulembeze bwa Uganda Muslim Supreme Council.

Mungeri yeemu, essaza lya Kerezia Katulika erya Masaka lyali lyalondebwa okukulemberamu okutendereza kw’okulamaga ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo omwaka oguwedde, wabula tekyasoboka olw’ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Essaza lye Masaka omwaka oguwedde lyali litegese abayimbi abawerera 500, okuvca mu diocese yonna ey’eMasaka okuli Kyotera, Masaka, Kalungu, Lwengo, Ssembabule, n’endala.

Wabula ku mulundi guno, akasunsula kaasuula abawerako nga Kati abantu 60 bokka bebagenda okwetaba mu kuyimba kuno.

Bano tubasanze ku lutikko e Kitovu nga bawawula maloboozi.

Akulira kwaya eno, Omulongo Kato Damian Mubiru atubuulidde nti newankubadde batono abagenda okwetaba mu kuyimba kuno, egwanga lisuubire ekintu ekirungi okuva mu ssaza lino erya Masaka.

Anthony Bbuka nga y’omu ku bayimbisa atubuulidde nti basanze okusomoozebwa okwenjawulo mu nteekateeka za Namugongo olw’ebbula ly’ensimbi, obutaba na budde bubamala kutendeka bayimbi nebirala.