Amawulire

Okukungubagira Ssabasumba kutandika olwaleero

Okukungubagira Ssabasumba kutandika olwaleero

Ivan Ssenabulya

April 5th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Entekateeka z’okuziika n’okukungubagira, abadde Ssabasumba wessaza ekkulu erye Kampala zigenda kutandika olwaleero.

Dr Cyprian Kizito Lwanga okufa kwe kwalangirirddwa ku lunnaku Lwomukaaga, chansala wessaza lino, Fr Pius Male Ssentumbwe oluvanyuma lw’okumusanga nga yafiridde mu kisenge kye.

Okusinziira ku Vicar General we ssaza, Monsignor Charles Kasibante, olwaleero wategekeddwawo mmisa eyenjawulo ku lutikko e Rubaga ku ssaawa 4 ezokumakya, wbaulanga omulambo tegugenda kuletebwa.

Ku lunnaku Lwokubiri, omulambo gwakujibwa mu gwanika e Mulago okugutwala ku butaka ku kyalo Kyabakadde mu disitulikiti ye Mukono.

E Mukono wajja kuberayo mmisa, ku ssaawa 4 ez’okumakya, ngeno omulambo gwakusulayo.

Ku lunnaku Lwokusattu, gwakutwalibwa ku lutikko e Rubaga mu mmisa enkulu enamusibula, nabantu okumukubako eriiso evvanyuma.

Okusinziira ku ntekateeka y’okuziika, etanabeera yankomeredde, Dr Cyprian Kizito Lwanga ajja kuzikibwa ku lutikko e Rubaga ku lunnaku Lw’okuna.