Amawulire

Okukola oluguudo lwa Mityana-Mubende kugenda kutandika

Okukola oluguudo lwa Mityana-Mubende kugenda kutandika

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Okukola oluguudo oluva e Mityana okudda e Mubende, okubadde kulindiriddwa okumala ebbanga, kugenda kutandika ngomwezi guno tegunagwako.

Kino kikakasiddwa akolanga omwogezi wekitongole kyenguudo, ekya Uganda National Roads Authority Allan Sempebwa, ngagambye nti contract yawereddwa kmpuni ya Energoprojekt ng’omulimu gugenda kuwemmenta obuwumbi 395 n’obukadde 200.

Oluguudo luno lwa KM 86 nga lugenda kulongosebwa, okulussa ku mutindo.

Luno lwerugatta Kampala ku Mityana, Mubende, Fort-portal okutukira ddala e Kibaale, nga lutambuza abalambuzi abawerako.

Omukulembeze we’gwanga Yoweri K. Museveni yatema evvunike kulwomulimu guno nga 6 January 2021.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *