Amawulire

Okugena ssenyiga omukambwe okwekikungo kutandise

Okugena ssenyiga omukambwe okwekikungo kutandise

Ivan Ssenabulya

May 31st, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Minisitule yebyobulamu, etegese olusisira lwebyobulamu ku kisaawe e Kololo, okutandika okugema abantu babulijjo ekirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Entekateeka eno egenda kutandika olwaleero, ngeganda kukulungula ennaku 10.

Omwogezi wa minisitule yebyobulamu Emmanuel Ainebyona agambye nti kino kigendereddwamu okukozesa eddagala lino mu bwangu nga terinayononeka, nga 10 July.

Ainebyoona, wabula alabudde abantu abagenda okujja okugemebwa, bagoberere amateeka nebiragiro ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe, okuli okwewa amabanga.

Egwanga lyatandika okugema mu March womwaka guno, bwebafuna eddagala doozi emitwalo 96 mu 4,000 erya AstraZeneca wansi wentekateeka ya Covax okuva mu gwanga lya Buyindi.

Wetwogerera ngabantu emitwalo 57 mu 7, 036 bebakagemebwa.

Ate, akakiiko akatekebwawo okulwnayisa ssenyiga omukambwe mu gwanga balaze okutya kumiwendo egikyali emitono egyabantu abagemeddwa.

Bwabadde ayogerako naffe, omuwabuzi womukulembeze we’gwanga ku bitrwadde ebikambwa Dr Monica Musenero nga yoomu ku batuula ku kakiiko, agambye nti abantu mu bibinja bebalambika mu kusooka babadde batono abagemeddwa.