Amawulire

Okugema abaana kwongezedwayo

Okugema abaana kwongezedwayo

Ivan Ssenabulya

October 20th, 2019

No comments

Bya Moses Ndaye, Minisitule ye by’obulamu eyongezayo okugema kw’endwadde za Mulalama, Olukusense ne Rubella mu disitulikiti okuli Kampala Wakiso Mukono ne mu bitundu bye Karamoja.

Minisita atwala ebyobulamu Dr. Jane Acheng agamba nti basazeewo okwongezaayo omulimo guno oluvanyuma lwagamu ku masomero mu disitulikiti zino abasawo obutagatukamu

Ate mu bitundu by’e Karamojja nnamutikwa wenkuba abadde afuddemba atataganyiza okugema kuno

Wabula ne mu bitundu byeggwanga ebirala okugema kwongezedwayo olunaku olulala lumu.

Okugema abaana okwatandika ku lunaku lwokusatu kubadde kukomekerezebwa lwaleero.

Okugema kuno kwalubirira okutuuka mu masomero 16,000 eri abaana abasoba mu bukadde 18 wabula olwaleero babadde bakakolako ebitundu 50%

Eggwanga mu bbanga lya myaka esatu egiyise libadde litawanyizibwa nyo ekirwadde kyolukusense songa ne mulalama abaana bangi bamwasimula bugolo.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *