Amawulire

Okugaba omusaayi okubade kutegekeddwa FDC kugudde butaka.

Ivan Ssenabulya

February 14th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Leero Bannakibiina kya FDC  baakedde kutuula wali ku kitebe kyabwe  e Najjanankumbi okwetaba mu kugaba omusaayi, kyoka bakanze kulinda abakugu okuva mu kitongole ekigaba omusaayi bagukime nga  mpaawo atuuka.

Amyuka ssabawandiisi wa FDC Harold Kaija, agamba nti babade bakaanyiza naba Blood transfusion service nti okugaba omusaayi kutandike ku saawa satu ez’okumakya okutuusa ku saawa kumi neemu  akawungeeezi, kyoka entekateeka yonna egudde butaka.

Wabula tugezezaako okwogerako n’akulira ekitongole ky’e terekero ly’omusaayi Dorothy Kyeyune  natutegeeze nti akyalina akafubi kaalimu.