Amawulire

Okubala obululu mu Kalungu East kugenda kuddamu

Okubala obululu mu Kalungu East kugenda kuddamu

Ivan Ssenabulya

January 26th, 2021

No comments

Bya Malikh Fahad

Akulira ebyokulonda mu disitulikiti ye Kalungu Anne Namatovu olwaleero agenda kuddamu okubala obululu ku kifo kyomubaka wa palementi, owa Kalungu East.

Eno minisita webyobulimi, obuvubi nobulunzi Vincent Ssempijja yawangulwa owa NUP Francis Katabaazi mu kulonda okwaliwo nga 14 January.

Omulamuzi wa kooti e Masaka Charles Yeteise yeyalagidde okubala obululu kudibwemu oluvanyuma lwomusango ogwatwaliddwayo minisita Ssempiija okuyita mu bannamateeka be, ngezimu ku nsonga zebawadde nti okubala obululu kwtobekamu vulugu atagambika.

Katabaazi, yali yalangrirrwa ku buwanguzi nobululu omutwalo 1 mu 2,000 atenga Ssempijja yafuna obululu omutwalo 1 mu 800, nga waliwo enjawulo ya bululu 1,300.

Bannamateeka ba Ssempijja abakulemberwamu Geoffrey Kandebe bategezezza kooti nti ba agenti bomuntu waabwe bagobebwa mu bifo ebironderwamu 25, mu biseera byokubala obululu nga tewaliwo bwerufu.

Wabula munnamateeka wakakaiiko kebyokulonda Eric Sabiti yakakasizza kooti nti okulonda mu Kalungu East kwali kwamirembe era kwamazima na bwenkanya, kubanga neba agenti ba Ssempijja bateeka emikono ku mpapula eziraga ebyava mu kulonda awataali kusika muguwa gwonna.

Ssempijja yoomu kuba minisita 25 abawnguddwa mu kulonda okuwedde, wabulanga yye tanakiriza ebyava mu kulonda.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *