Amawulire

Okubala obululu ku banakikirira abakozi mu palamenti kugenda mu maaso

Okubala obululu ku banakikirira abakozi mu palamenti kugenda mu maaso

Ivan Ssenabulya

January 18th, 2021

No comments

 

Bya Ndaye Moses,

Okubala obululu eri abo abesimbyewo okuvuganya ku bakikirira abakozi mu palamenti kukyagenda mu maaso wali Kibuli Secondary school era Agnes Kunihira alangiriddwa ng’omubaka omukyala akikirira abakozi mu palamenti.

Ono asigaza ekifo kye bwafunye obululu 326 ate munne bwebabadde bavuganya Annette Birungi afunye 161.

Abalala abali mu lwokaano kuliko Charles Bakabulindi, Arinaitwe Rwakajara and Sam Lyomoki.

Abalala abapya abali mu lwokaano kuliko eyaliko pulezidenti wekibiina omwegatira abasawo mu ggwanga, Dr Ekwaru Obuku ne Usher Wilson Owere, sentebe we kibina omwegatira abakozi mu ggwanga ki National Organization of Trade Unions (NOTU)

Oluvanyuma lwómulondesa, Ibrahim Kakembo  okulangirira Kunihira ku buwanguzi, aweze nga bwagenda okulwana okulaba nti buli mukozi mu ggwanga aba nomusaala ogusokerwako

Era ayagala eleete ekiteeso mu palamenti ekitereza emisala gya bakozi ba gavt okumalawo obutali bwenkanya