Amawulire

Ogwábannamawulire ne media council gusalwa ku lwakuna

Ogwábannamawulire ne media council gusalwa ku lwakuna

Ivan Ssenabulya

January 11th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kkooti enkulu etadewo ennaku zomwezi 14th January 2021 okuwa ensala yaayo mu musango ogwawabwa abasunsuzi bamawulire nga bawakanya ekya akakiiko akalondoola emirimu gya bannamawulire aka Media council okulagira bannamawulire bonna bewandiise baweebwe olukusa okusaka amawulire ku kulonda kuno ne ku mikolo gya gavt

Omulamuzi Esta Nambayo,agambye nti okusalawo kwe agyakukuyisa ku mayilo, kino kidiridde omulamuzi okusisinkana munnamateeka wa basunsuzi bano Francis Gimara nákikiridde ssabawolereza wa gavt Geoffrey Madette, na balagira okutekayo ebiwandiko byabwe byonna ebikwata ku musango guno ku lunaku olwokusatu

Abasunsuzi bamawulire okuyita mu kibiina ekibagatta ekya Editors Guild Ltd bekubira enduulu mu kkooti nga bawakanya ekya Media council okuwa bannamawulire nsalesale kwe balina okwewandiisiza bafune olukusa okusaka amawulire agakwata ku kulonda.

Bano nga bakulembedwamu sentebe waabwe Daniel Kalinaki bagamba aba Media council tebalina buyinza kuwandiisa bannamawulire nga balumiriza nti abalina obuyinza beba National Institute of Journalists (NIJU) ate nga tebakola.