Amawulire

Ogwa Uncle money gutandise okuwulirwa

Ogwa Uncle money gutandise okuwulirwa

Ivan Ssenabulya

October 1st, 2019

No comments

Bya Ruth Anderah, Kkooti ya Buganda Road olwaleero lw’etandise  okuwulira omusango Munnabyamizannyo era omuwagizi wa tiimu ya Uganda Cranes  lukulwe, Jackson Ssewanyana amannyiddwa nga Uncle  Money  mwavunanibwa ogw’okutta omuntu mu butali bugenderevu.

Uncle Money nga y’amyuka ssentebe w’ekyalo kya Kasubi Zone 4, yasindikibwa e Luzira ne Benson Ssenyonga ng’ono ye difensi w’ekyalo oluvannyuma lw’okuggulwako omusango gw’okutta Siraje Tumusiime mu butali bugenderevu.

Olwaleero ababiri bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda road, Ayo Miriam Okello aguli mu mitambomitambo gy’omusango guno.

Omujulizi aleetedwa oludda oluwaaabi Abdallah Zaake Tumuhirwe  omugoba wa boda boda ku stage ya Munaku  ategezezza kkooti nga  August 16th 2019 kusaawa nga  8:30 bweyali akola egyigye yalaba uncle money nga akute Siraje Tumusiime kati omugenzi ekitojji kye

Mungeriyemu baleese n’ekifaanyi nga omugenzi asibidwa emigwa .

Tumusiime yattibwa nga August 16, 2019 oluvannyuma lw’abatuuze okumuteebereza okuba omubbi nga bano baatwalira amateeka mu ngalo ne bamukuba amayinja n’emiggo egyamuttirawo era ekyaddirira ye poliisi okukwata abakulembeze be yalumiriza nti bebaali bakuliddemu abantu okutwalira amateeka mu ngalo .

Ekibonerezo ekisembaayo ku musango gw’okutta kyakusibwa mayisa .

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *