Amawulire

Ogwa Tumukunde gulamulwa ssabiiti ejja

Ogwa Tumukunde gulamulwa ssabiiti ejja

Ivan Ssenabulya

January 21st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Kooti etuula ku City Hall mu kampla eyongezaayo omusango gw’okulya munsi olukwe oguvunanibwa Lt Gen Henry Tumukunde okutuuka nga 17 February 2021,

Omulamuzi we ddaala erisooka Valerian Tuhimbise agambye nti ku lunnaku olwo, lwajja okulamula omusango gwono mwayagalira okuwuliriza emisango ejimuvunanibwa kuyimirizibwe.

Tumukunde avunanibwa okulya munsi olukwe n’okusangibwa n’ebyokulwanyisa mu bukyamu.

Emisango yajizza nga 5 March mu 2020, bweyasinziira ku TV emu mu Kampala

Ono nga 13 March era mu 2020 ku wofiisi ze ku Impala Avenue e Kololo mu Kampala yasangibwa ne mmundu 2 okwali AK47 nendala kika kya basitoola omwali namasasi 34 wabulanga talina  lukusa.