Amawulire

Ogwa Taxi gugobeddwa

Ali Mivule

July 23rd, 2013

No comments

Taxis parked

Omusango ogwawaabwa ba dereeva ba takisi nga bawakanya omusolo ogwassibwaawo aba KCCA, gugobeddwa.

Omulamuzi wa kkoti enkulu Benjamin Kabiito abagambye nti baakolamu ensobi mu kuwaaba omusango guno bwe baawaabira KCCA , mu kifo kya minista eyakola ekiragiro.

Ba Dereeva bawaaba mu kkooti nga bawakanya omusolo ogw’e 120,000  aba KCCA gwe basolooza ku buli mmotoka ya takisi ekolera mu Kampala, buli mwezi.

Bagamba nti ensimbi zino nyingi ne basaba bagyibweko 70,000/-

Kkooti yayimiriza omusolo guno n’esaba ba kansala ba Kampala basooke batuule basalewo sente  mmeka ezirina okusasulwa.

Minista avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala, Frank Tumwebvaze yasalawo okulagira aba KCA baddemu okusolooza omusolo guno , ba dereeva kye baayita okuzimuula ekiragiro kya kkooti.

Bwabadde awa ensala ye, omulamuzi Benjamin Kabiito awadde ba dereeva anmagezi baddemu okuwaaba nga bawaabira minista.

Munnamateeka wabwe John Matovu ategeezezza nga bwe bagenda okukola batyo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *