Amawulire

Ogwa Nantaba bagwongeddeyo mu kooti enkulu

Ogwa Nantaba bagwongeddeyo mu kooti enkulu

Ivan Ssenabulya

October 8th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi w’eddala erisooka mu kkooti ento e Mukono Tadeo Muida agobye okusaba kwa Ssabawabi wa gavumenti, kweyatakayo ngayagala ngajja emisango minisita omubeezi owebyuma bi kalimagezi era omubaka omukyala owa district ye Kayunga Aidah Nantaba n’abasirikale ba poliisi abalala 3.

Kino kyadiridde aba famire yomugenzi Ronald Ssebulime nga bayita mu munnamateeka waabwe Muwada Nkunyigi okwemulugunya eri kkooti nga bawakanya ekyakolebwa ssabawaabi wa gavumenti.

Ba maama bomugenzi Ssebulime okuli Sylivia Nakayita ne Justine Nantale
bategezezza nga bwebasanyukidde okulamula kwomulamuzi, kubanga tekibadde kya bwenkanya.

Kino kitegezza nti emisango egivunanibwa minister Nantaba ne banne okuli omusirikale wa poliisi Opira Ronald, Baganza Ronald ne Cherotich Edward gikyaliwo, nga basindikiddwa mu kooti gyebagenda okuvunanaibwa.

Ssabawaabi wa gavumenti yali yasaba omusango guno okuva mu banamateeka ba famile, wabul ate nagamba nti agenda kugujjamu enta.

Kigambibwa nti minister yeyawa poliisi amauwlire agbulimba nebatta Ssebulime, bwebamukuba amsasasi mu bitundu bye Nagojje, nga kigambibwa nti yali alaondoola emmotoka ye.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *