Amawulire

Ogwa Lukwago gwa lwa kutaano luno

Ali Mivule

April 8th, 2014

No comments

Lukwago case fixed

Kkooti ey’okuntikko mu ggwanga kyaddaaki etaddewo olunaku okunawulirwa okujulira okwakolebwa loodimeeya Erias Lukwago.

Abalamuzi abataano aba kkooti eno nga bakulirwa Bart Katureebe nga 11th omwezi guno bakutandika okuwulira okusaba okwakolebwa Lukwago  ng’awakanya ebyasalibwaawo omulamuzi wa kkooti ejulirwaamu Steven Kavuma

Lukwago ayagala kkkooti eno okusazaamu ebyasalibwaawo kooti eno nga bimugoba mu ofiisi oluvanyuma lw’essaawa ntono ng’azzeemu okukola emirimu.

Ayagala abalamuzi bakakase nti ye Loodimeeya w’ekibuga era akkirizibwe okukola emirimu gye

Mu ngeri yeemu era Lukwago ayagala kkooti eno okuyisa ekiragiro ekiyimiriza akakiiko akalondesa okujjuza ekifo kye oky’obwa loodimeeya

Lukwago bukynga agobwa mu ofiisi oluvanyuma lwa ba kansala okumujjamu obwesige abadde ali mu ntalo za mateeka era nga abadde takyakola mirimu gya bwa loodimeeya.