Amawulire

Ogwa Bobi gwakulamulwa nga 18 March

Ogwa Bobi gwakulamulwa nga 18 March

Ivan Ssenabulya

February 11th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah ne Ritah Kemigisa

Kooti ensukulumu, ngetulako abalamuzi 9 yakulamula omusango gwa Robert Kyagulanyi oguwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna, nga 18 March 2021.

Kyagulanyi awakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni, oluvanyuma lwokulonda okwaliwo nga 14 January omwaka guno.

Kino kirangiriddwa ssabalamuzi we gwanga, Alfonse Owiny Dollo mu lutuula lwa leero, enjuuyi zombie abawaaba nebebawabira mwebababdde batekeddwa okukaanya ku binagobererwa mu kuwulira omusango.

Kati olutuula luno olwokukaanya lwongezeddwayo okutukira ddala nga 24 February.

Kino kidirirdde banamateeka ba Kyagulanyi, abakulembeddwamu Medard Lubega Ssegona okusabayo akadde, kubanga agambye nti alina obujulizi njolo, obuli mu 100 bwatekeddwa okutekayo.

Ssegona agambye nti obujulizi obuli mu 50, agenda kubutekayo olwaleero ate obulala obuli abutekeyoku Bbalaza.

Wabula ssabalamuzi Dollo alambise nnaku zino, era nalagira enjuuyi zombie okutekayo omujulizi bwabwe mu buwandiike obutasukka nga 4 March 2021.

Banamateeka agambye nti bakuweebwa ediika 30 zokka, okunyonyola obujulizi buno mu bigambo.

Wabula abawaaba abawadde omukisa, nti bakuleeta obujulizi bwabwe obuli ku butambi oba erekituloniki okuliobutambi nga bakubwekenneya nga 25 nenkeera waalwo nga 26 February 2021.

Yyo kooti yakukozesa ennaku 10, okuwandiika enamula yaayo bwebanaaba bamaze okuwulira omusango guno gwonna, olwo  nga 18 March balamule.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *