Amawulire

Ogwa babaka gwongezeddwaayo

Ali Mivule

June 4th, 2013

No comments

rebel MPS

Okuwulira okusaba kwekibiina kya NRM ababaka abana bebagoba mu palamenti baddeko ebbali nga kooti bweyetegereza ekyokubagoba mu palameti kwongezeddwayo paka nga 12 june.

Ab’ekibiina kya NRM, bataddeyo okusaba mu kkooti etaputa ssemateeka nga baagala ekole ekiragiro ekigoba mu palamenti ababaka abaagobwa mu kibiina, okutuusa ng’omusango gwe baawaaba mu kkooti gumaze okuwulirwa.

Omubaka w’e Kibuku mu palamenti , Saleh Kamba wamu n’omuwagizi wa NRM, Maryam Agasha be bataddeyo okusaba nti ababaka bano bagire nga bagobwa mu palamenti.

Bano baawaba omusango mu kkooti etaputa ssemateeka nga bawakanya ekyasalibwawo sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga , eyagaana okugoba ababaka bano mu palamenti ng’agamba nti talina tteeka ly’ayinza kuyitamu kukikola.

Bagamba nti ensala ya Sipiika eklontana ne konsitityusoni era baagala esazibwemu ababaka Bernabas Tinkasimire, Theodore Ssekikubo , Wilfred Niwagaba ne Mohammed Nsereko, bave mu palamenti kubanga ekibiina mwe bagyira kyabanaabira mu maaso nga kati baliyo mu bukyamu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *