Amawulire

Obwakabaka bwa Buganda buvudeyo kuttaka lya CMS Kisosonkole

Obwakabaka bwa Buganda buvudeyo kuttaka lya CMS Kisosonkole

Ivan Ssenabulya

February 20th, 2021

No comments

File Photo: Katikiiro wa Buganda

Bya Shamim Nateebwa 

Obwakabaka bwa Buganda buwakanyiza ekiwandiko ekyafulumiziddwa ekitongole kya Kampala District Land Board, nga kiraga nti ettaka lyé Kyambogo Link mu division ye Nakawa, teririna bwanannyini era nti yéririnako obuyinza, nga ne government eyawakati eri munteekateeka zókulyeddiza.

Obwakabaka bwa Buganda butegezeza nga ebiwandiko ebyafulumiziddwa kumikutu gya mawulire bya bulimba, kubanga ettaka lino lya CMS Kisosonkole, jjajja wa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, era ne Ssasabasajja yoomu ku balina omugabo ku ttaka lino.

Omumyuka asooka owa Katikkiro, Owek Twaha Kawaase Kigongo, agambye nti gavt eyawakati yakiriza dda nti ettaka lino kituufu lya CMS Kisosonkole, nga mu kiseera kino tesobola kwekuba wakati nga enteseganya zikyagenda mu maaso.

Obwakabaka buwakanyiza ebyapa byonna ebya Freehold nga mwe muli nékyapa kya Kyambogo University ebyakolebwa ku ttaka lya CMS Kisosonkole bikyamu era bitekeddwa okusazibwamu.

Owek Kawaase asabye aba kakiiko ka Kampala District Land Board okuteeka mukola ebiragiro bya president byeyasalawo ku ttaka lino okujjayo obwanannyini awatali kufiirwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *