Amawulire

Obwakabaka busse omukago naba Health Hearts Foundation

Obwakabaka busse omukago naba Health Hearts Foundation

Ivan Ssenabulya

March 17th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Obwakabaka bukoze omukago n’ekitongole ekirwanisa endwadde z’emitima ekya Health Hearts Foundation, n’ekigendererwa ky’okukolera awamu okulwanisa z’omutima mu bantu ba kabaka.

Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga yatongoza omukaga guno nasaba abantu okufa ku bulamu bwabwe nga basosowoza eby’obulamu.

Mungeri yeemu Katikkiro asabye abantu okwegendereza ennyo ebintu bye balya okugoba endwadde nyingi omuli ne z’omutima.

Ssenkulu wa Health Hearts Foundation, Owek Rita Namyalo, agambye nti munkolagana eno bagenda kubuna amasaza gonna 18 nga basomesa abantu ebintu bye batekeddwa okukola okwetangira endwadde y’omutima.