Amawulire

Obuwumbi 12 poliisi zeyeetaaga okulwanyisa obutujju

Ali Mivule

May 7th, 2014

No comments

sniffer dogs

Poliisi yeetaga obuwumbi 12 okulwanyisa obutujju mu ggwanga n’emisango gy’ebusukka nsalo.

Bwabdde ayanjula embalirira ya poliisi ey’omwaka gw’ebyensimbi  2014/15 eri akakiiko ka palamenti ak’ebyokwerinda, Rogers Muhirwa nga ye muwandiisi wa ministry w’ensonga zomunda mu ggwanga agamba ssente zino zakuyamba mu kuketta obulumbaganyi bwonna nga tebunabaawo.

Kino kijidde mu kaseera nga eggwanga lya Kenya ne Amerika kyegajje galabule ku bulumbaganyi bw’obutujju obuyinza okubalukawo wano mu ggwanga.

Ekibinja ky’abakungu okuva mu poliisi bakyalo maaso g’akakiiko kano nga nga bakulembeddwamu ssabapoliisi w’eggwanga ne minister omubeezi owa minisytry ekola ku nsonga z’omunda w’eggwanga James Baba .