Amawulire

Obunkenke bweyongedde mu kulonda kwe Hoima

Obunkenke bweyongedde mu kulonda kwe Hoima

Ivan Ssenabulya

September 26th, 2019

No comments

BYA FRANCIS MUGERWA ne ALEX TUMUHIMBISE

Obunkenke bulabika nga bweyongedde mu kulonda kwomubaka omukyala owa district ye Hoima.

Eno okulonda kujumbiddwa ebitagambika, atenga ku bifo ebisnga okulonda kwtaandise mu budde.

Ku Kezara polling station e Kiryatete West mu divison ye Kahoora mu munispaali ye Hoima, okulonda kwatandise kikereezi olwebikozesebwa ebitatuuse mu budde.

Okusing abavubuka bebetabye mu kulonda kuno, era bangi balabiddwa mu nyiriri, nga bagenze okusuula akalulu kaabwe.

Bbyo ebyokwerinda binywezeddwa mu bifo ebisinga.

Wabula omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Alberetine Julius Hakiza, agambye nti baafunye amauwlire nti wabaddewo abavubuka ku boda boa abagenze nga batiisatiisa abantu, ngokulonda tekuanbaawo.

Wabula nabamu ku b’oludda aoluvuganya gavumenti balabiddwako nga balumiriza aba NRM okubadde ssentebbe wekibiina kino mu district ye Kayunga, Moses Kalangwa okubba obululu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *