Amawulire

Obumenyi bwamateeka bwakendedde mu 2020

Obumenyi bwamateeka bwakendedde mu 2020

Ivan Ssenabulya

April 19th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Alipoota ya poliisi ekwata ku bumenyi bwmateeka eya 2020 eraze nti, obumenyi bwamateeka bukenededde nebintu 8.9% bwogerageranya nobumenyi bwamateeka bwebafuna mu mwaka guli ogwayita 2019.

Bwebabadde batongoza alipoota no ku kitebbe kya poliisi e Naguru, Ssabapoliisi we’gwanga Martins Okoth Ochola gambye nti obumenyi bwamateeka bwakendeera okuva ku misango emitwalo 21 mu 5,224 mu 2019 okudda ku misango emitwalo 19 mu 5,931 mu 2020.

Ochola okukendeera kuno, akitadde ku muggalo gwa ssenyiga omukambwe COVID-19 olwengeri abantu gyebabakugira okutambula nga babeera waka, camera ezaletebwa ku nguudo nengeri gyebongeddemu amaanyi okukola potolo.

Wabula agambye nti bakyalina oikusomozebwa olwebikolwa ebyenguzi, okutyoboola eddembe lyobuntu nobusiwuufu bwempisa obulala obukyali mu basirikale.

Aipoota eno efuluma buli mwaka okulaga engeri poliisi gyekolamu emirimu gyayo.