Amawulire

Obufere bw’okumasimu: Poliisi ye Katwe ekutte 10

Obufere bw’okumasimu: Poliisi ye Katwe ekutte 10

Ivan Ssenabulya

March 11th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwooga

Poliisi ye Katwe ekutte abantu 10, abateberezebwa okubeera abamenyi bamateeka, nga bajiddwa mu bitundu bye Masajja, Makindye-Sabagabo mu Wakiso.

Poliisi etegezezza nti bano babakwatidde mu kikwekweto, kyebakoze akawungeezi ke ggulo.

Amyuka omwpogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Oweyosigyire agambye nti bano balina akabinja, nga beyita ‘Call Call’ conmen, nga kigambibwa nti bebabadde benyigira mu kufera abantu.

Bano babaddenga basindikira abantu message ezekikwangala ku masimu, eza ssente nga babategeeza nga bwebawangudd, gyebigwera nga bababbye.

Bano era kigambibwa nti babaddenga bamenya okuyingira mu mayumba gabantu, wabulanga basobodde okukwatibwa nabadde abakulira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *