Amawulire

Obubaka bw’omutanda obwa Eid

Obubaka bw’omutanda obwa Eid

Ivan Ssenabulya

July 20th, 2021

No comments

Bya Prosy Kisakye

Empologoma ya Buganda, Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asabye abasiraamu okukuza Eid Adhuha obulungi era basabire engwanga nensi awamu, Omutonzi ajitaase ku kirwadde kya ssenyiga omukambwe.

Eid yomulundi guno ejidde nate mu kiseera ekyobulwadde bwa ssnyiga omukambwe, omuli omuggalo nebiragiro ebyenjawulo.

Omutanda abajjukizza okujjumbira okwegema, okusobola okukuuma emibiri gyabwe okuva eri COVID-19.

Mu birala agambye nti basaanye okusabira palamenti empya eyomulundi ogwe 11, okuteeka ku mwanjo ensonga zokka ezamakulu era eziruma bannaUganda, era abavunanyizibwa batekwo obwnekanya nokumalwo obumenyi bwamateeka.