Amawulire

NWSC bagezesezza amazzi agava e Katosi

NWSC bagezesezza amazzi agava e Katosi

Ivan Ssenabulya

June 27th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitongole kyamazzi mu gwanga, National Water and Sewerage Corporation kikaksizza abantu mu bitundu bye Kyanja, Kisaasi, Ntinda, Kireka, Naguru nebyetoloddewo nti bagenda kuddamu okufuna amazzi.

Ebintu bino bimazze ennaku nga tebalina mazzi.

Kati bategezezza ngabakugu baabwe bwebali mu ntekateeka ezisembayo okumaliriza essunsuliro lyamazzi era Mukono-Katosi, basobole okwongera ku bungi bwamazzi mu Kampala nemirirwano.

Olunnaku lweggulo aba National Water bagesezza amazzi ku tterekero bwaguuga erye Naguru, agava e Katosi.

Katosi water treatment plant yaakusunda amazzi liita obukadde 240 buli lunnaku eri abanatu obukadde 7 nekitundu mu disitulikiti ye Kampala, Wakiso ne Mukono.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *