Amawulire

NUP yegaanye okujemera akakiiko kebyokulonda

NUP yegaanye okujemera akakiiko kebyokulonda

Ivan Ssenabulya

December 30th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abekibiina kya National Unity Platform bawakanyizza ebigambibwa nti bagenda kujumera akakiiko kebyokulonda bakube kampeyini ezawamu mu bibuga ne district gyebaganiddwa.

Akulembera ekibiina kino Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine amwulire gawandiise, okuva mu lukungaana lwabanamwulire lweyatuzizza olunnaku lwe ggulo ngawera nti waakugenda mu bitundu ebyo.

Kati ssabawandiisi wekibiina kya NUP David Lewis Rubongoya abiwakanyizza nagamba nti omuntu we bamutegedde bukyamu.

Agambye nti kyakanyiziddwako nti bagenda kuyinta mungeri endala ezisoboka, okutuuka ku bantu mu bitundu ebyo.

Ebimu ku bibuga ebyakoseddwa kuliko Kampala, Mbarara Masaka ne Mukono, Tororo, Jinja, Kabalore ne distulikiti endala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *