Amawulire

Nubian Li ne Eddie Mutwe tebazze mu kooti

Nubian Li ne Eddie Mutwe tebazze mu kooti

Ivan Ssenabulya

May 10th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah

Abawagizi bekibiina kya NUP, abavunanibwa okubeera nebyokulwanyisa olwaleero tebalabiseeko mu maaso gomulamuzi wa kooti yamagye e Makindye.

Bano okuili Ali Bukeni amanyiddwa nga Nubian Li ne Eddy Sebuufu amanyiddwa nga Eddi Mutwe nabalala babadde batekeddwa okulabikako mu kooti okufuna ennamula yaabwe, ku musango mwebasabira okweyimirirwa.

Wabula tewabadde kunyonyola lwaki tebazze, atenga omusango teguwereddwa lunaku lulala.

Oluda oluwaabi lugamba nti bano nga 3 mu January 2021 mu kitundu kya Makerere Kavule, mu Kiggundu Zone basangibwa namasasi 4 ekintu ekimenya amateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *