Amawulire

NRM okwongezaayo okulonda- Abakugu boogedde

NRM okwongezaayo okulonda- Abakugu boogedde

Ali Mivule

October 26th, 2015

No comments

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

File Photo:Abakulira ekibiina kya Nrm ngabogeera

Abamu ku batunulizi b’ebyobufuzi bategezezza nga ebigenda mu maaso mu kibiina kya NRM bwebitali bipya kale nga betaaga okutuula bateese okugonjoola ensonga zonna.

Omukugu mu by’obufuzi  Mwambutsya Ndebesa agamba okwongezaayo akamyufu kano kiraga nti ebintu tebitambula bulungi mu NRM.

Ono agamba nti ekibiina kisaanye okwewala obwanakyemalira mu kukulembera bannakibiina wabula bateese okumalawo enjawukana.

Bw’abadde ayogerera ku TV ya NBS,Prof Ndebesa awadde ekyokulabirako nga ekibiina kya UPC bwekyasasika mu 1970 lwabukundi munda mu kibiina.

 

Okwongezaayo kw’okulonda kw’akamyufu ka NRM ak’ababaka ba palamenti ne bassentebe bazidisitulikiti abesimbyewo e Kamuli bakwasimula bugolo sso nga abalala basanyufu.

Abasinga bagamba bakwongera okusasaanya ensimbi ekigenda okwongera okubakosa.

Wabula ye Omubaka omukyala ow’e Buyende  Veronica Kadogo agamba kino kilungi kubanga olunaku olweggulo abantu be banji bakubiddwa nga kale kirungi okwongezaayo okulonda kuno okwewala effujjo.

Ye akulira ebikwekweto bya poliisi e Kamuli Bongo ategezezza nga olunaku olweggulo bwebasiibye nga balwanagana n’abayaaye abaabadde bookya enyumba z’abantu wamu n’okugulirira abalonzi nga babawa sukaali n’ebirala.

 

Bannakibiina kya NRM e Mubende bakolimidde ab’akakiiko akalondesa olw’okusazaamu akamyufu.