Amawulire

NRM ewangudde ebifo byababaka babavubuka byonna

NRM ewangudde ebifo byababaka babavubuka byonna

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2021

No comments

Bya basasi baffe

Ekibiina kya NRM kiwangudde ebifo byonna 5 ebyababaka babavubuka mu palamenti, oluvanyuma lwokulonda okwabaddewo olunnaku lwe ggulo.

Olunnaku lwe ggulo abavubuka abali mu 7000 bebetabye mu kulonda kuno mu bitundu bye gwanga ebyenjawulo.

Mu kusooka Phionah Nyamutoro yeyawangula ekifo kyomubaka wabavubuka omuwala.

Kati okuva mu kulonda kwe ggulo owa NRM Agnes Kirabo yawangudde Ivan Bwowe nobululu 780 ngawamu yamezze abantu 11 bwebabadde mu lwokaano.

Mu Bugwanjuba bwe gwanga Edson Rugamayo awangudde abantu 6 abavuganyizza nga yafunye obululu 1,419.

Abamu ku babadde mu lwokaano luno kwabaddeko Arnold Turwomwe mutabani wa minisita webye ttaka Betty Kamya.

Mu buvanjuba bwe gwanga okulonda kwabadde Mbale, era ebivuddemu birangiriddwa, ngowa NRM Bernard Odoi awangudde ate mu mambuka ga Uganda era owa NRM Henry Okot naye nawangula.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *