Amawulire

Nnabbambula w’omuliro asanyizawo emmaali

Nnabbambula w’omuliro asanyizawo emmaali

Ivan Ssenabulya

September 21st, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Poliisi etandise okunonyereza ekyavirideko nnabambula w’omuliro ogwasanyizawo emmaali y’abasuubuzi embalirirwamu obukadde nobukadde bwensimbi ku mbagiro wali e kireka mu district ye mukono.

Kigambibwa nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga taano ezekiro ekikeseza olunaku olwaleero.

Okusinzira kw’akulira ekitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro Joseph Mugisa poliisi yasobodde okutuuka mu budde ne taasako bye yasobodde.

Ono agamba nti okunonyereza kukyagenda mu maaso okuzuula ekyavudeko kanaluzaala n’okumanya ebintu bya muwendo gwenkana ki ebyasirikidde mu nnabambula womuliro guno

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *