Amawulire

Nnabambula w’omuliro asanyizawo ekkolero

Nnabambula w’omuliro asanyizawo ekkolero

Ivan Ssenabulya

January 14th, 2020

No comments

Bya Abubaker Kirunda, poliisi e Jinja etandise okunonyereza okuzuula kiki ekivuddeko omuliro, ku kkolero lya Nile-agro factory omutokomokedde ebintu ebiwerako.

Omuliro guno kigambibwa nti gutandikidde mu boyira, ku kkololero lya butto lino eppya.

Omwogezi we kkolero lino Francis Baganzi agambye nti kibatwalidde ebbanga okuguzikiza.

Atwala poliisi yabazinya mwoto e Jinja Collins Agaba agambye nti ebintu bingi ebisanyewo, wabulanga tewali mukozi yenna atusiddwako obulebe