Amawulire

Nambooze akyagaliddwa

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebauliba

Police nokutuusa kati ekyagalidde omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze nga bamutebereza okubeera nakakwate ku kutibwa kw’badde omubaka wa munisipaali ye Arua Ibrahim Abiriga.

Nambooze ajiddwa mu maka ge e Mukono, ekiwendo ekikulembedwamu addumira police ye Mukono Rogers Sseguya.

Mu kusooka aggaliddwa ku jinja road, kyoka oluvanyuma natwalibwa e Naggalama gyakyakumibwa.

Police egamba nti  nga Abiriga tanattibwa ku lwokutaano,  Nambooze nabalala 3 baliko obubaka bwebaateka ku mikutu eggya social media nga bawagira okuttibwa kwa Abiriga.

Bwabadde ayogera ne banamwulire, munamateeka womubaka Nambooze nga lord mayor wa Kampala Erias Lukwago agambye nti tanakola statement, nga tewali musango gwonna gwebamuguddeko.

Wabula poliisi egamba nti erina obujulizi obumala.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire yategezeza nti byebalina birumira ddala omubaka Nambooze.

Mungeri yeemu twayogedeko ne munamateeka wa Nambooze Merderd Lubega Ssegona, gyebwavuddeko nabaako byatubulira.

Abalala abanonyezebwa  kuliko Raymond Soulfa amanyiddwa nga Peng Peng, Nasser Mugerwa ne Jane Kuli nga police egamba nti akadde konna bano bakukwatibwa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *