Amawulire

Nile Breweries ewaddeyo emikebe gya Oxgyen 300

Nile Breweries ewaddeyo emikebe gya Oxgyen 300

Ivan Ssenabulya

July 21st, 2021

No comments

Bya Moses Ndaye

Kampuni ya Nile breweries ewaddeyo emikebe omutekebwa omukka gwa oxygen 300 ziyambeko okutaasa ku balwadde ba COVID-19 abeetaaga okuwanirirwa nomukka guno baleme okufa.

Nga Uganda eyita mu muyaga ogwokubiri ogwe kirwadde kino esanze okusomozebwa okwobutaba na mikebe mwetereka omukka gwa oxygen olwobungi bwabalwadde abagwetaaga.

Omukwanaganya wemirimu gya kampuni ya Nile breweries Onapito Ekomoloit agambye nti emikebe gino gyakuweerezebwa mu malwaliro ga gavt 17 okwetoloola eggwanga.

Mu kukwasibwa ebintu bino ssabaminisita Robinah Nabbajja agambye nti ebbula lyomukka gwa oxygen kikyali kisomooza kinene nyo eri gavt naye nga gavt etandise kuntekateeka ezokuzimba ekkolero lya Oxgyen e Mulago

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *