Amawulire

Nekolera gyange bamukutte n’akalenzi ak’emyaka 14

Nekolera gyange bamukutte n’akalenzi ak’emyaka 14

Ivan Ssenabulya

February 13th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa:

Poliisi ekutte nekola gyange mu loogi nakalenzi akatanetuuka.

Aruch Tendo owemyaka 35 nnekolera gyange ku mwalo gw’e Kasenyi akwatidwa poliisi lwakusangibwa mu loogi n’akalenzi akemyaka 14.

Omulenzi kwewozaako agambye nti yabadde ayitaayita ku mwalo n’asanga omukazi ono n’amusaba amuwe 2,000/- era Tendo n’akkiriza n’amuyingiza mu loogi n’amweyambulira okumulagako.

Omulenzi agambye nti yabade atandika okumukwatako awo poliisi weyajide nebakonkona nebavaayo wabulanga, tebalina kyebakoze.

Aruch akkiriza okukabawaza omulenzi n’agamba nti tebalina kye bakoze.

Tendo asabye poliisi okumusonyiwa waakiri bamugobe ku mwalo aboneredde obutadda mu bwamalaaya.

Bombi batwaliddwa mu ddwaliro e Kasenyi okubakeberebwa ne kizuulibwa nga bonna balamu teri alina bulwadde bwa siriimu.

Bakyakuumibwa ku poliisi y’e Kasenyi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *