Amawulire

NDA erabudde ku bidagala by’omuddo

NDA erabudde ku bidagala by’omuddo

Ivan Ssenabulya

June 17th, 2021

No comments

Bya Damalie Mukhaye

Abakugu mu byobulamu balabudde bann-Uganda ku kumala gekamirir ebidagala ebitabule mu muddo, nga bagamba nti balwanyisa ssenyiga omukambwe.

Okulabula kuno nate kukoleddwa Dr. David Nahamya, omuwandiisi wekitongole ekivunayizbwa ku ddagala mu gwanga ekya National Drug Authority.

Agambye nti abantu bangi abetanidde ebidagala nga bawanuuza ku muddo ogwenjawulo nga bweguweweeza nokgoba COVID-19, wabulanga kikyamu naddala abantu okukozesa byebasanze nga tebamaze na kwekebeza.

Ono awabudde nti eddagala abakugu lyebakakasa kuliko Zinc, Panadol, Vitamin C ne Azithromycin.

Dr. Nahamya, alabudde nti eddagala lyebetabulidde lyandivaamu ate obulabe eri emibiri gyabwe.

Dr Rosemary Byanyima, amyuka akulira eddwaliro lye Mulago agambye nti minisitul egenda kufulumya ebirina okugobererwa mu bujanjabi bwa ssenyiga omukambwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *