Amawulire

Nateete, Mubende,abataxi beekalakaasizza

Ali Mivule

July 8th, 2013

No comments

Taxis parked

Oluvanyuma lwa poliisi y’ebidduka okussaawo ebibonerezo ebippya eri ba dereeva ba mmotoka ababa bazizza emisango, aba takisi balinye mu kyoto.

Ba dereeva abakolera mu paaka y’e Nateete beesuddemu julume ne bagiggala ne bawera obutakola okugyako nga poliisi ekyusizaamu.

Ssentebe wa siteegi y’e Nateete , Richard Kakooza agambye nti basazeewo okwekalakaasa mu ddembe nga tewali agenda kuvuga mmotoka, okutuusa nga bamaze okuwuliziganya n’abali mu ministry evunaanyizibwa ku by’entambula.

Mungeri yeemu ebyentambula e Mubende bisanyaladde olwabagoba ba tax nabo okwediima okusaabaza omuntu yenna olwamateeka ga police amajja

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *