Amawulire

Namungoona- Omulala afudde

Ali Mivule

July 3rd, 2013

No comments

victimsvictims

Omuntu omulala ku balwadde abali mu ddwaliro e Mulago , abaayidde omuliro, afudde.

Patrick Sserunkuma afudde olw’ebiwundu ebingi by’abadde nabyo.

Ekimotoka ky’amafuta kyayabika ku lwomukaaga oluwedde,oluvanyuma lw’okutomerwa mmotoka endala, nekikwata omuliro opgwayokya enyo abaali balinaayewo saako abagendayo okusema ku mafuta agaali gakulukuta.

Kati omuwendo gw’abaakafa gulinye ne gutuuka mu 40.

Waafiiridde nga waliwo enkaayana mu bantu be ku ani ateekeddwa okuweebwa ensimbi obukadde 5 gavumenti zegabira buli yayidde omuliro saako abaafudde.

Abamu ku b’enganda ze buli omu asituddeyo ky’alina okulaga nga bwasinga okumuba ku lusegere.

Eriyo azze n’engatto, omulala ngoye n’ebirala bingi.

Abakulira eddwaliro ly’e Mulago basazeewo okugya omusaayi ku Jesicca Nalule agamba nti ye nyina.

Okubudaabuda abalwadde okubadde kugenda mu maaso, kukyankalanyeemu oluvanyuma lw’abantu okutandika okukaayanira ensimbi mu kifo ky’okuwuliriza ebibasomesebwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *