Amawulire

Namungoona-abakafa bali 42

Ali Mivule

July 4th, 2013

No comments

petient on a bed

Omuwendo gwabakafiira mu muliro ogwakwata ekimotoka kyamafuta e namungona gulinye .

Okusinziira ku mukungu eyekebejja emirambo mu dwaliro ekulu e mulago Moses Byaruhanga., Abantu abalala 2 bafudde nga kati abaakafa baweze 40.

Omu kuba bafudde ye Cristopher senono 23, nga abadde muvuzi wa bodaboda ku satage yensambya, nga ye omulala bimukwaatako.

Bbo abenganda zabantu abaafiira mumuliro gno bakyeyia mu daliro lye mulago balabe oba banasobola okuzuula emirambo gyabantu baabwe.

Wabula doctor Byaruhanga ategeezezza nga bwebatagenda kuddamu kuwaayo mulambo gwonna paka olunaku lwa mande nga bamaze okwekebejja emirambo jino nga bakozea enkola ya DNA esobola okuzuula abenganda abatuufu.

Bbo abakyaali abalamu bali  mumbeera mbi oluvanyuma lwokokyebwa omuliro mungeri yomutawaana.

Abantu 29 bebaafiirawo oluvanyuma lwekimotoka kyamafuta okukwaata omuliro wali e namungoona.