Amawulire

Namukadde bamwookedde mu nyumba

Namukadde bamwookedde mu nyumba

Ivan Ssenabulya

October 11th, 2018

No comments

Bya Malik Fahad.

Police wano e  Katwe  mu  Sembabule  etandise okunonyereza engeri omusajja ow’emyaka 66 gyafiiridde mu muliro mukiro ekikeesezza olwaleero

Eno entiisa ebadde ku kyalo Binikiro mu gombolola ye  Katwe , omuntu atanategerekeka bwateekedde enju ya  Peter Kakooza owemyaka 66, namala namuggalira munda.

Ssentebe w’ekyalo kino John Bukenya, agambye nti abaakoze kino bakozesezza mafuta aga Petrol nebamala nebadukira ku bodaboda.

Ono abadde abeera ne muwalawe , kyoka ono abatemu bano baasoose nebamulagira okufuluma, nebamala nebateekera enyumba eno omuliro

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *