Amawulire

Nambooze bamutadde mu scan e Kiruddu

Ivan Ssenabulya

June 18th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka owa munispaali ye Mukono Betty Nambooze bamutadde mu scan okumwekebejja okuzuula ekimuluma.

Kino kibikuddwa munnamateeka we Erias Lukwago amukyaliddeko ku ddwaliro e Kiruddu amakya ga leero.

Omubaka gyebuvuddeko era yemulugunya ku bulumi mu mugongo.

Omubaka Nambooze yakwatibwa nemugalira ku poliisi e Nagalama gyebamujja okumutwala mu dwaliro ngembeera ye eyenonese.

Wabula ono akyanonyerezebwako poliisi ku byekuusa ku nfa ya Ibrahim Abiriga, eyali omubaka wa munispaali ye Arau.