Amawulire

Nambooze awakanyizza akabondo ka Buganda aka NRM

Nambooze awakanyizza akabondo ka Buganda aka NRM

Ivan Ssenabulya

March 19th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omubaka wa munisipaali ye Mukono betty nambooze asabye obwakabaka bwa Buganda okugoba akabondo kababaka ba NRM aba Buganda akatondedwawo.

Ababaka bekibiina kya NRM mu lusirika lwabwe, e Kyankwanzi balonze omubaka we Kabula James Kakooza nga sentebe wa kabondo kano, nebalonda ebifo ebiralala, wabula Nambooze kyagamba nti tekyakoleddwa mu mutima mulungi.

Nambooze agamba nti kino kigenderedde kuleeetawo njawukana nokunafuya obwakabaka bwa Buganda.

Kati atutegezeza ng’obukulembeze bwebamanyi, era bwebakyasaamu ekitiibwa bwebwo obukulemberwa omubaka wa Mukono South Johnson Muyanja Ssenjonga.