Amawulire

Nambooze awaddeyo amaka ge okujanjabiramu aba COVID-19

Nambooze awaddeyo amaka ge okujanjabiramu aba COVID-19

Ivan Ssenabulya

July 18th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabuluya

Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze awaddeyo amakka ge, awabadde wofiisi z’ekibiina kya National Unity Platform gakozesebwe okwawula abalwadde ba ssenyiga omukambwe.

Amaka gano gasangibwa ku kuyalo Kavule, ku luguudo lwe Nabuti okumpi nakatale komu Kikko.

Nambooze agambye abadde Nakabago mu maka ge, bwabadde asisinkanye ba ssentebe be’byalo ebikol egombolola yamsekati oba Mukono Central Division.

Bano abasabye okubeera abasaale mu kutangira okusasana kwa ssenyiga omukambwe.