Amawulire

Mwongeze abasomesa emisaala

Ali Mivule

July 11th, 2013

No comments

tecahers in village

Palamenti esabiddwa okussa amaanyi ku nsonga y’okwongeza abasomesa emisala.

Ababaka ba palamenti abakikiirira abakozi baweze okukunga abasomesa beekelakaase singa gavumenti tetuukiriza bweyamo bwayo ku ky’okubongeza ensimbi ebitundu 20 ku buli 100 ezaabasuubizibwa mu mbaliruira y’eggwanga eyaggwa.

Ssentebe w’ekibiina ekigatta ebibiina by’abakozi Usher Wilson Owere agamba nti weaaliwo endagaano eyatuukibwako ey’okwongeza abasomesa ensimbi ebitundu 50 ku buli 100 naye nga yali yakuyisibwa mu mitendera esatu.

Agambye nti kino tekikolebwanga n’ayuongerako nti sInga omwezi gw’omwenda gutuuka nga tewali kikoleddwa tewajja kuba kyakukola kirala okugyako okussa wansi ebikola.

 

Eggulo abasomesa baayise mu mubaka w’abakozi Teopista Nabulya Ssentongo ne basaba palamentui eyise ekiteeaso ky’okubopngeza kissibwe mu mbalirira y’omwaka guno.

Amyuka sipiika ensonga eno yagiweerezza mu kakiiko akavunaanyizibwa ku by’enjigiriza.

President gyebuvuddeko yasaba abasomesa babeere bagumikiriza ate bakomye n’okutiisatiisa okwekalakaasa.